Okutuuza Abaami b’Emiruka mu Kyaddondo, Abatuuziddwa Beeyamye Okuzza Buganda ku Ntikko
- ByAdmin --
- Feb 12, 2024 --
Abaami ba Kabaka basabiddwa okubeera abasaale mu kukuuma ettaka nga beewala okwennyigira mu mivuyo gy’ettaka egifuuse baana baliwo mu ggwanga era n’akukubiriza abantu obuteetundako ttaka okuggyako okulikulaakulanya. Obubaka buno bubaweereddwa Kaggo mu bubaka bwe bw’atisse omumyuka we ow’Okubiri Dr. Phiona Nakalinda Kalinda Matovu amukiikiridde ku mukolo gw’okutuuza Omwami wa Kabaka ow’Omuluka gwa Kyanja Mituba IV Lawrence Zaake.