Okutuuza Abaami b’Emiruka mu Kyaddondo, Ab’omu Kisenyi Batuuziddwa Nebakuba Ebirayiro
- ByAdmin --
- Feb 07, 2024 --
Omwami wa Kabaka amulamulirako Essaza Kyaddondo, Kaggo Hajji Ahmed Magandaazi afalaasidde abazadde okudda ku nkuza y’abaana eggwanidde babasigemu empisa kubanga eggwanga lwerijja okutereera. Bino okubyogera Kaggo abadde atuuza Omwami w'Omuluka gwa Kisenyi 3 n’Omumyuka we saako ab’ebitongole okutandika okuweereza abantu ba Kabaka.