Okutumbula eby’Obulamu mu Buganda , Obwakabaka Butegese Olusiisira lw’Ebyobulamu
- ByAdmin --
- Nov 14, 2024 --
Katikkiro Charles Peter Mayiga yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okutumbula eby’obulamu mu Buganda ne Uganda. Obubaka buno abutisse, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule amukiikiridde mu Lusiisira lw’ebyobulamu olutegekeddwa wano mu Bulange e Mmengo okwetegekera olunaku lw’enkya olwa sukaali olukuzibwa buli mwaka nga 14 November.