Okusiiga Vvu e Lubaga, Ekisiibo Kitandise
- ByAdmin --
- Feb 15, 2024 --
Olwaleero abakulisitu mu nsi yonna beeyiye mu masinzizo okwetaba mu Mmisa y’okusiiga evvu ekulembera ekisiibo eky’ennaku 40 eziragirwa abagoberezi ba kulisitu okwebuulirira ku nsobi zabwe n’okudda eri Omukama. Ku Ekeleziya Lutikko e Lubaga, Ssaabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere akubirizza abakkiriza okweyisa obulungi mu kisiibo wamu n’okukola ebikolwa ebirungi eri bannabwe kibayambe okuganyulwa mu kisiibo kyabwe.