
Okusabira Ssaabasajja Kabaka e Lubaga, Abakulisitu Beeyanzizza nnyo Ssaabasajja Kabaka
- ByAdmin --
- Jul 29, 2024 --
Kamalabyonna wa Buganda Munnamateeka Charles Peter Mayiga akubirizza abantu ba Kabaka okukulembeza obumu ku buli nsonga nti yeemu ku nsonga eyasobozesa Obwakabaka okuddawo. Mu bubaka bwatisse Minisita w’Enkulaakulana y’abantu mu Bwakabaka Owek. Chotilda Nakate mu Mmisa y’okusabira Ssaabasajja Kabaka okuweza emyaka 31 ng’alammula Obuganda e Lubaga, Katikkiro ategezezza nti obumu bwebugenda n’okusobozesa Obwakabaka okulwanyisa abalabe baabwo .