
Okumanyagana kw’Abeddira Ekkobe e Busoga, Namwama Abakubirizza Okubeera Obumu
- ByAdmin --
- May 14, 2025 --
Omukulu w’Ekika ky’Ekkobe nga era ye mukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba agugumbudde gavumenti ku butabanguko mu maka n’okunaabuuka kw’empisa okweyongedde mu baana era n’asaba abakulembeze okubaako kyebakola. Omutaka Nnamwama abadde yeetabye ku mukolo gw’okumanyagana kw’abazzukulu b’enju ya Ali Lwanga abawangaalira e Busoga ku kyalo Busiiro mu ggombolola ye Waibuga e Luuka.