Okulwanyisa Amataba mu Ggwanga, Gavumenti Eyanjudde Enteekateeka
- ByAdmin --
- May 14, 2024 --
Minisita w'Amazzi n'Obutonde, Sam Cheptoris alabudde abakolera mu ntobazi okukikomya bunnambiro kubanga bebaviiriddeko ebizibu eby’enjawulo omuli ekyeya n’amataba ebibonyaabonya bannayuganda. Ono agamba gavumenti etaddewo ensimbi ezisoba mu buwumbi butaano okusobola okulwanirira obutonde bw’ensi. Bino abyogedde ku Media Center bw’abadde ayanjula enteekateeka z’okukuza olunaku lw’obutondebwensi olugenda okukuzibwa nga 5 omwezi ogujja mu disitulikiti ye Sironko.