Okulamaga ku Butaka bw’Ekika ky’Olugave, Abazzukulu Basabiddwa Okukuuma Ennono n’Obuwangwa
- ByAdmin --
- Jul 01, 2024 --
Bazzukulu ba Ndugwa ab’eddira Olugave basisinkanye ku butaka bwabwe e Mabuye Katende mu ssaza Mawokota n’ekigendererwa eky’okutema empenda z’okukulaakulanya obutaka bwabwe n’Ekika okutwaliza awamu. Ensisinkano eno yetabiddwamu n’abamu ku bakulu b’Amasiga n’Emituba era abazzukulu bakubiriziddwa okukuuma ettaka ly’Ekika okusobola okukikulaakulanya.