Okulamaga ku Butaka bw’Ekika ky’Engabi, Abaganda Basabiddwa Okwenyigira mu Mirimu gy’Ebika
- ByAdmin --
- Nov 25, 2024 --
Bazzukulu ba Nsamba bakedde kulamaga ku butaka bwabwe e Bwanda - Buwama mu disitulikiti ye Mpigi nga bali wamu n’abakulembeze ab’enjawulo okuva mu Bika ebirala. Minisita w’ebyobuwangwa n’ennono mu Bwakabaka, Owek. Dr. Anthony Wamala y’akiikiridde Obwakabaka nga asabye abazzukulu mu Bika ebyenjawulo okukulaakulanya Ebika byabwe kubanga gwe musingi gwa Obuganda.