Okukuza Olunaku lwa Kigungu e Bungereza
- ByAdmin --
- Feb 13, 2024 --
Ssaabasumba w’Essaza ekkulu erye Kampala Paul Ssemogerere akubirizza abakulisitu bulijjo okutambulira mu bigere by’Abajulizi ba Uganda n’Abaminsani nga bakola ebikolwa eby’ekisa basobole okutambulira mu butuukirivu. Bino Ssaabasumba abyogeredde mu United Kingdom gy’akulembereddemu ekitambiro kya Mmisa, bwebabadde bakuza olunaku eddiini y’ekikatoliki lwe yaleetabwa mu Uganda. Omukolo guno gwetabiddwako Omwami wa Kabaka ow’essaza lya United Kingdom ne Ireland ko ne bakulembera nabo n’abantu ba Kabaka abawangaalira mu Ssaza lino.