
Okukuza Olunaku lwa Bulungibwansi, Katikkiro Ayagala Gavumenti Esale ku Bbeeyi y’Amasannyalaze
- ByAdmin --
- Oct 09, 2024 --
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye gavumenti ya Uganda okukendeeza ku bbeeyi y'amasannyalaze kisobozese buli muntu okugafumbirako kiyambeko okutaasa obutondebwensi. Bino abyogeredde mu Ggombolola Mutuba V Nyenga mu Ssaza Kyaggwe bw’abadde yeetabye ku mukolo gw'okukuza olunaku lwa Bulungibwansi olukuzibwa mu Buganda nga 8 October buli mwaka.