
Okukuza Olunaku Lw’obutondebwensi mu Buganda, Katikkiro Akubirizza Abantu Okukuuma Obutondebwensi
- ByAdmin --
- Jun 13, 2025 --
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akalaatidde abantu bonna okufungiza n'okutuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe okutaasa n'okukuuma Obutondebwensi, abaana n'abazzukulu babuganyulwemu mu biseera byabwe eby'omumaaso. Bino bibadde mu bubaka bw’atisse omukubiriza w'olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’obutondebwensi mu Buganda olutegekeddwa mu e Ssembabule mu Ssaza Mawogola.