
Okukebera Enkalala z’Abalonzi, Ab’oku Myalo Bagamba Kutambula Kasoobo
- ByAdmin --
- Feb 03, 2025 --
Abatuuze abawangaalira ku myalo egy’enjawulo mu disitulikiti ye Masaka bawanjagidde akakiiko k’ebyokulonda okubongera ku budde bwokukebera enkalala n’okwewandiisa kubanga bangi ku bannaabwe n’okutuusa kati tebannakebera wadde okuwandiisibwa olw’ennaku entono ezaabaweebwa enteeketeeka eno. Bano bongeddeko nti akakiiko k’ebyokulonda tekalina na byuma bimala ng’ebyalo 27 byaweereddwa ekyuma kimu okubakola.