
Okujaguza Emyaka 20 Egy’obufumbo Obutukuvu, Abafumbo Basabiddwa Okwesigangana
- ByAdmin --
- Jan 26, 2025 --
Minister w’olukiiko n’ensonga ez’enkizo mu woofiisi ya Katikkiro, Owek Noah Kiyimba alaze obwelaliikirivu ku bafumbo bw’ebiseera bino obutawangaala kyagamba nti kiva ku baagalana obutakulembeza mukwano gwabwe ne batunuulira ebintu ebirala. Owek. Kiyimba okwogera bino abadde akiikiridde Katikiro wa Buganda, Owek Charles Peter Mayiga ku mukolo omuweereza wa Buganda mu Kitongole ky’abagenyi, Christine Nampijja nga akuza okuweza emyaka 20 mu bufumbo ne kabiite we Ishaiah Kalanzi.