
Obwakabka bwa Butegese Olusiisira Lw'ebyobulamu
- ByAdmin --
- Feb 29, 2024 --
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga akubirizza abantu bulijjo okufaayo ennyo okwekebeza endwadde ez’enjawulo bamanye obulamu bwabwe bwebuyimiridde. Katikkiro agamba nti ekimu ku biviiriddeko banna Uganda abangi okufiirwa obulamu bwabwe bwebuteekebeza ndwadde ate nebagenda mu malwaliro okufuna obujjanjabi nga baweddeyo.