
Obwakabaka Butongozza Ekigimusa Ky’emmwanyi, Bwagala Kwongera ku Makungula
- ByAdmin --
- Feb 14, 2025 --
Obwakabaka busse omukago ne kkampuni ekola ebigimusa eya Grain Pulse Uganda ng'omu ku kaweefube w'okutumbula eby'obulimi n’okulwanyisa ebicupuli by’ebigimusa ku katale. Ku lw'Obwakabaka, Ssenkulu w'ekitongole kya BUCADEF Omuk. Alfred Busuulwa yatadde omukono ku ndagaano ekoleddwa ate Ssenkulu wa Grain Pulse , Frederick Petras Van nateekako omukono ku lwa kkampuni eno. Enteekateeka eno ebadde ku mbuga y'Obwakabaka enkulu e Bulange - Mengo era nga batongozza n'ebigimusa by’Obwakabaka eby'ekirime ky'emmwanyi n'ebitooke