
Obwakabaka Busse Omukago ne Gavumenti, Baakubunyisa Enjiri y’okulwanyisa Omusujja Gw’ensiri
- ByAdmin --
- Apr 29, 2024 --
Obwakabaka bwa Buganda butongozza kaweefube w’okulwanyisa omusujja gw’ensiri mu ggwanga nga ku mulundi guno aba booda booda bebasaale mu kukulemberamu okubunyisa enjiri eri abantu b’Omutanda n’okubajjukiza okuteeka munkola ebitangira omusujja gw’ensiri okwejiriisiza mu ggwanga. Obwakabaka mu nteekateeka eno busse omukago ne minisitule y’ebyobulamu mu ggwanga nga munkola eno bagenda kukolera wamu okumanyisa abantu ba Kabaka amawulire agakwata ku ngeri y’okulwanyisaamu omusujja gw’ensiri omuli okugemebwa okusula mu butimba obulimu eddagala n’enkola endala.