
Obwakabaka Buleese Ekittavvu Ky’abakozi, Katikkiro Agamba Kyakuyamba Abakozi Okweterekera
- ByAdmin --
- Apr 17, 2024 --
Obwakabaka bwa Buganda bulangiridde nti mu kiseera ekitali kya wala bugenda kutongoza ekitavvu kyabwo ekituumiddwa Buganda Social Security Fund mu kaweefube w’okulaba nga abaweereza ba Kabaka ababeera bawummudde babeerako akasente akaawamu kebafuna okwebezaawo. Ssentebe w’ekitavvu kino ye Owek. Prof Twaha Kaawaase Kigongo ategeezezza nti ebitongole by’Obwakabaka byonna biteekwa okwegata ku kitavvu kino awatali kwekwasa nsonga yonna.