
Obwakabaka Bukuzizza Olunaku lw'Okukuuma Obutondebwensi, Obwakabaka Bulabudde Abasaanyaawo Obutonde
- ByAdmin --
- Jun 13, 2024 --
Obwakabaka bwa Buganda butegeezezza nti bwakugenda maaso n’okulwanirira enteekateeka ey’okukuuma obutonde bw’ensi obwonoonebwa ennyo ensangi zino. Bino bibadde mu bubaka bw’Owekitiibwa Robert Waggwa Nsiibirwa Omuwanika w’Obwakabaka era omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro bw’ababdde ku mukolo gw’okukuza n'okukuuma obutonde bw’ensi mu Buganda.