Obwakabaka Bukungubagidde Omuk. Pascal Ssekasamba , Atenderezeddwa Emirimu Gyakoledde Obuganda
- ByAdmin --
- May 17, 2024 --
Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde Omuk.Pascal Ssekasamba abadde abeera e Bungereza eyafudde sabbiiti ewedde omulambo gwe negukomezebwawo ku Butaka. Omwoyo gwe gusabiddwa ku Kerezia ya Christ the King e Nakasero. Obubaka bwe Mbuga bwetikkiddwa munnamawulire wa Ssaabasajja Omuk. Dick Kasolo nga atenderezza emirimu Omugenzi gyakoledde Obwakabaka bwe.