Obwakabaka Bugumizza Abalimi B’emmwanyi, Bugenda Kuzimba Ekyuma Ekisunsula Emmwanyi
- ByAdmin --
- Nov 15, 2024 --
Obwakabaka bulangiridde enteekateeka z’okuzimba ekyuma ky'Emmwaanyi eky’omulembe ekisunsula emmwanyi e Nakisunga mu Kyaggwe okuyambako abantu ba Beene okufuna mu mmwanyi zaabwe. Obwakabaka era bugumizza abantu ba Ssaabasajja obutaterebuka wabula bagende mu maaso n’okulima ekirime ky’emmwanyi kibayambe okuva mu bwavu beekulakulanye. Bino byogeddwa Omumyuka Owokubiri owa Katikkiro Owek Robert Waggwa Nsibirwa bwabadde atikkula abantu ba Kabaka oluwalo ku mbuga enkulu ey’Obwakabaka Bulange Mengo.