
Obwakabaka Bufunye Ebyuma Bikalimagezi , Byakuyambako Okunnyikiza Ebibalo
- ByAdmin --
- Jun 30, 2025 --
Obwakabaka bufunye ebyuma bikalimagezi biyite “tablets” ebiwerera ddala 1000 okunnyikiza ebibalo n’okutumbula okunoonyereza mu bantu ba Ssaabasajja Kabaka. Ebyuma bino bibaweereddwa ekitongole ky’ebibalo ki Uganda Bureau of Statistics (UBOS) eri obukulembeze bw’Ennono obw’enjawulo n’amatendekero ga gavumenti ag’enjawulo. Obuuma obusoba mu 50,000 bwebugabiddwa era ababufunye bagamba bwa kubayamba nnyo mu nteekateeka ez’enjawulo