Obutakkaanya Ku Kkolero ly’Amajaani, Abakulira Ekkolero Tebalina Ssente Zebasasuza Bakozi

Obutakkanya ku kkolero ly’amajaani erya Igara Growers Tea Factory bweyongedde, abalimi b’amajaani okuva mu disitulikiti ye Buhweju bwebakombye kwerima ne balekerawo okuwayo ebikola bya majani ekiviiriddeko emirimu ku Kkolero lino okuzingama. Abalimi b’Amajaani balumiriza abakulira ekkolero lino okulemererwa okusasulira ebikola by’Amajaani byebabawa okumala emyezi ena egiyise era kati abalimi bano baagala beekutule ku Kkolero lino basobole okweddukanyiza emirimu mu Kkolero lyabwe.


https://youtu.be/WcpXfI3ntpA?si=hkxddSKKtQwYcwN3

LEAVE A COMMENT