Obusuulu Butabudde Abakulembeze mu Kampala, Loodimmeeya Akolokose Abakulira KCCA

Loodi Mmeeya Ssaalongo Erias Lukwago akolokose abakulembera ekitongole ki Kampala Capital City Authority ab'Ekiseera okuli Ssenkulu Rusa Nyakaana ne banne olw’okwebulankanya ku nsonga ezikwata ku bantu. Lukwago akolokose ne bakansala ku lukiiko lwe abatamanyi mateeka gakwata ku Busuulu kyokka nga balungi mu kugamba agiwadde omuliro. Okwogera bino Kkooti etaawuluza enkaayana za Busuulu asoloozebwa ekitongole ekitwala Kampala ekya Kampala Capital City Authority ebadde etudde e Makindye okusala entotto ku kwemulugunya kw'abantu be Makindye.


https://www.youtube.com/watch?v=BwKVv9OKrv8

LEAVE A COMMENT