NUP Etegese Okusaba kw’Okujjukira Abantu Abaafa mu 2020, Ab’oluganda Lwabwe Baagala Bwenkanya
- ByAdmin --
- Nov 19, 2024 --
Ab’oluganda lw’ abantu abafiira mu bwegugungo obwaliwo mu 2020 nga Pulezidenti w’ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu akwatibwa ab’ebyokwerinda mu disitulikiti ye Luuka baagala ab’ebyokwerinda abeenyigira mu bikolwa bino bakangavvulwe. Bino babyogeredde ku kitebe kya Nup e Makerere mu Mmisa y'okujjukira abafiira mu bwegugungo buno