
NUP Egudde mu Lukwe lwa Gavumenti Olwokuyiwa Omusimbi Esattulule Ekibiina Kyabwe
- ByAdmin --
- Jul 03, 2025 --
Ekibiina ki National Unity Platform kigamba kyagudde mu lukwe lw’abebavuganya olw’okuteeka obuwumbi 30 mu bantu abenjawulo omuli n’ebibiina ebimu n’ekigendererwa eky’okunafuya NUP n’okutta obululu bwabwe wabula bano NUP ebasekeredde. Mu lukungaana lwa bannamawulire olutudde ku kitebe ky’ekibiina kino e Makerere Kavule , akakiiko k’ebyokulonda mu NUP kalangiridde nti abantu abali eyo 77854 bebaakanona empapula nga begwanyiza ebifo ebyenjawulo