Nnyinimu Mwali , Bannasingo Bamulabyeko n'Agaabwe mu Lubiri e Mengo
- ByAdmin --
- Oct 31, 2024 --
Bannassingo babugaanye essanyu Ssaabasajja Kabaka bw’asiimye n’abawuubirako enkya ya leero bwebabadde bakiise Embuga okuleeta Amakula. Amakula gano gabatikkuddwa Omulangira Felix Muteesa asabye abantu ba Kabaka okuvaayo basimbire ekkuuli bannakigwanyizi abeesomye okuvvoola n’okutyoboola ekitiibwa kya Nnamulondo.