Nnamwandu wa Yasin Kawuma Akukkuluma

Nnamwandu wa Yasin Kawuma eyali ddereeva wa Robert Kyagulanyi Ssentamu eyattibwa mu bitundu bya Arua mu kanyolagano akaaliwo wakati w’abawagizi b’oludda oluvuganya gavumenti n’amagye agakuuma Pulezidenti Museveni aga SFC mwebaamukubira amasasi era naafiira mu mmotoka ya Kyagulanyi, akukkulumidde bannabyabufuzi bba beyatambulanga nabo abaamwesamba nebagaana n’okutuukiriza ebisuubizo byebakola. Ono tumusanze agenze mu nsisinkano y’ekibiina ekigabi ky’obuyambi okunoonyeza abaana be bbasale basobole okudda ku ssomero.


https://youtu.be/AY8p_d0mYqY?si=Bjzc_Plfkpx7b04G

LEAVE A COMMENT