
Nnabagereka Asabye Abakyala Okukuza Obulungi Abaana, Ayagala Bakozese Tekinologiya Okwekulaakulanya
- ByAdmin --
- May 01, 2025 --
Nnabagereka Sylvia Naginda asabye abakyala bulijjo okufaayo ennyo eri amaka gaabwe nga basomesa abaana baabwe empisa basobole okubeera ab’omugaso eri Buganda ey’enkya. Nnabagereka ayagala abakyala okwongera omutindo ku bintu byebakola nga bakozesa omukisa ogwa tekinologiya akula buli kadde. Okwogera bino abadde ku bikujjuko by’okukuza olunaku lw'abakyala mu Buganda ebiyindidde e Kyankwanzi mu Ssaza Ssingo.