
Nnaabagereka Ayogeddeko n’Abasaakaate, Abakubirizza Okubeera Abantubalamu
- ByAdmin --
- Jan 15, 2025 --
Ng’Ekisaakaate kya Nnaabagereka eky'omwaka guno kibulako ennaku mbale kikomekkerezebwe, Nnaabagereka Nnaabagereka Sylvia Nagginda era omutandisi wakyo alambuddeko ku basaakaate ku ssomero li Janan Secondary School e Bombo- Kalule mu Bulemeezi. Nnaabagereka agamba ku mulundi guno abasaakaate bamukoze obulungi obutagambika olw'ebyo byebayize.