Namwama Akalaatidde Abazzukulu Okukuuma Ekitiibwa kya Buganda
- ByAdmin --
- Sep 09, 2024 --
Omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba akalaatidde abantu okukuuma ennono n’okukomya okuvvoola Obuganda kyagamba nti kikyamu. Bino Omutaka Namwama abyogeredde ku kyalo Katabira mu Ssaza Butambala bwabadde ku dduwa ya Hajji Safina Nantege maama w’omusuubuzi omututumufu mu kikuubo, Bamutenda Nsubuga.