Nabbanja Agguddewo Mwoleso gwa Tekinologiya, Gavumenti Egenda Kusala ku Bbeeyi ya ‘Internet’

Ssaabaminisita Robinah Nabbanja akakasizza nga gavumenti bweri mu nteekateeka y’okulaba ng'ebbeeyi abantu kwebeeyungira ku mutimbagano oba kiyite ‘Internet’ ekka, okusobozesa abantu bonna mu ggwanga okukozesa omutimbagano. Bwabadde aggulawo omwoleso gwa Tekinologiya e Nakawa ogw’omulundi ogw'okusatu oguyitibwa National ICT Job Fair, Robinah Nabbanja ategeezeza nti n'ebbeeyi y'ebyuma ebigenda ku mutimbagano gamba ng’amasimu agayitibwa Sseereza erina okubeera wansi, abavubuka basobola okukozesa omutimbagano okwetandikirawo emirimu.


https://youtu.be/e6XaSD5C820?si=xDdNYWvpKK2w93Jj

LEAVE A COMMENT