Museveni Atongozza Enkalala za NRM, Alabudde Abaagala Okutaataganya Enteekateeka Z'ekibiina

Omukulembeze w’eggwanga era Ssentebe w'Ekibiina kya NRM Yoweri Tibihaburwa Kaguta Museveni alabudde abagenda okukulemberamu enteekateeka y’okuwandiisa n’okuzza obuggya enkalala z’abalonzi mu kibiina kya NRM n’agamba nti singa bano banagezaako okudibaga enteekateeka eno boolekedde okutwalibwa e Luzira okumala ebbanga lya myaka musanvu. Museveni olwaleero atongozza enteekateeka ey’okuzza obujja enkalala z’abalonzi mu kibiina kino wakati nga beetegekera okulonda okwa 2026.


https://www.youtube.com/watch?v=cJNMZW2YTYg

LEAVE A COMMENT