Munna NRM Agenda Kuvuganya Museveni, Agamba Ayagala Kuzza Uganda ku Luguudo
- ByAdmin --
- Sep 30, 2024 --
Ng’ebbugumu mu by’obufuzi lyeyongera olwaleero wavuddeyo munnayuganda omulala alangiridde okwesimbawo ku kifo ky’obukulembeze bw’eggwanga wabula okwawukanako n’abalala ono ye wa NRM era ayagala Ssentebe w’ekibiina kino Yoweri Kaguta Museveni amuteere enkasi. Omulamuzi eyawummula, Kawooya Samuel Kigongo agamba nti mwetegefu okwesimbawo ku kaadi ya NRM mu kalulu akajja era ayagala ekibiina kimuwagire asobole okukyusa eggwanga lino era agamba tatidde kusomooza kwonna okujja n’ekiruubirirwa kye.