
Mpuuga Aleeta Nnongoosereza mu Mateeka g’Ebyokulonda
- ByAdmin --
- Jul 11, 2024 --
Kamiisona wa Palamenti era omubaka wa Nyendo - Mukungwe, Owek. Mathias Mpuuga Nsamba ategeezezza nti bingi ebirina okukyusibwa nga akalulu ka 2026 tekannaba kutuuka kubanga ebisinga ku byali mu kalulu akawedde tebinnaba kukolwako nga muno mwemuli n’ensonga y’abantu abaabuzibwawo naddala abawagizi b’oludda oluvuganya. Owek. Mpuuga agamba singa tewabeerawo nnongoosereza zikolebwa, bannayuganda tebasuubira kalulu k’amazima n'obwenkanya mu 2026.