Mpuuga Akiikiridde Ssenyonyi mu Lukiiko Lw'ababaka Abalondoola Emirimu gya Gavumenti

Eyali akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti Owek. Mathias Mpuuga Nsamba, akubirizza ababaka abatuula ku kakiiko ka Palamenti akalondoola ku bisuubizo obutavumbeera mu kubanja gavumenti etuukirize by’ezze esuubiza bannansi ebyafuuka gannyana ganywebwa muwangaazi. Mpuuga abadde mu lusirika lw’ababaka abatuula ku kakiiko akalondoola ebisuubizo bya gavumenti e Ntebe gy’abadde akiikiridde akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti. Ababaka abatuula ku kakiiko kano beeyamye okukola ekisoboka okulaba nga gavumenti etuukiriza by’ezze esuubiza bannansi naddala mu mbalirira ezizze zisomebwa mu myaka egyenjawulo.


https://www.youtube.com/watch?v=8yNHpQKXHkg

LEAVE A COMMENT