
Minisita Namuganza ne Ssenyonyi Batadde Omukono ku Kiwandiiko Ekigoba Mpuuga ne Banne
- ByAdmin --
- May 29, 2024 --
Minisita omubeezi ow’amayumba Persis Namuganza Palamenti gweyagyamu obwesige wabula n'asimatuka y’omu ku batadde omukono ku kiwandiiko ekiggya obwesige mu ba kaminsona ba Palamenti abagambibwa okukozesa obubi ensimbi era ye Minisita asookedde ddala okuteeka omukono ku mpapula zino. Namuganza agamba nti palamenti eweddemu ensa olw’ebikolwa by’obulyake era ssinga wateekebwawo akalulu k’ekikungo ku kujja obwesige mu palamenti, tewali asobola kusimattuka. Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti Joel ssenyonyi, naye atadde omukono ku kiwandiiko kino.