Minisita Musenero Akalaatidde Abazadde Okussa Essira mu Kutumbula Obuyiiya

Minisita wa sayansi, tekinologiya n’obuyiiya mu woofisi ya Pulezidenti, Dr. Monica Musenero alabudde abazadde n’abalimi okukomya bunnambiro okusindika abaana okulima mu budde bwebalina okusomeramu nga agamba nti kitta ebiseera byabwe ebyomumaaso. Dr. Musenero okwogera bino abadde atongoza ttabamiruka wa bannabyanjigiriza abadde mu disitulikiti ye Butebo nga yetabiddwamu abakulembeze ba gavumenti ez’ebitundu, abasomesa n’abazadde n’ekigendererwa eky’okusitula omutindo gw’ebyengiriza mu kitundu kino.


https://youtu.be/c9oijXmWJaI?si=oPgKOhaxSdE1OxcK

LEAVE A COMMENT