Mao Agobeddwa mu Lukiiko, Eby'okugatta Ebitongole Bizzeemu Kigoye Weezinge
- ByAdmin --
- Feb 23, 2024 --
Eby’okugatta ebitongole bya gavumenti biguddemu nnabe olwa baminisita abakulembeddemu enteekateeka eno okubadde Norbert Mao, Mululi Mukasa ne Ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka okugobwa mu kakiiko ka palamenti ak’ebyamateeka olwokujja n’ebiwandiiko ebitakwatagana. Baminisita babadde bazze mukakiiko k’ebyamateeka kuby’okugatta akakiiko k’eddembe ly’obuntu n’akakakiiko k’obwenkanya okukolera awamu.