Maj. Gen. Dick Olum Awaddeyo Woofiisi, Abadde Muduumizi wa “Operation SHUJJA”
- ByAdmin --
- May 23, 2024 --
Abadde omuduumizi w’ekikwekweto ki SHUJA ekyatondebwawo okulwanyisa akabinja ka bayeekera aka ADF Maj. Gen. Dick Olum awaddeyo woofiisi mu butongole eri amuddidde mu bigere Maj. Gen Richard Otto ng’ono ye yasindikiddwa mu ggwanga lya Kenya gyagenda okukalabiriza emirimu. Omuduumiizi w’eggye ly’okuttaka Lt. Gen Kayanja Muhanga y’ebazizza Dick Olum olw’omulimu gw’akoze mu kufuuza abayeekera ba ADF abaali bafukidde banna Uganda ekyonga.