Lwomwa Akalaatidde Bazzukulu be Okujjumbira Enteekateeka z’Ekika
- ByAdmin --
- Nov 11, 2024 --
Mu kaweefube w’okunyweza obuwangwa n’ennono nga tuyita mu bika by’Abaganda, Omutaka w’Ekika ky’Endiga, Lwomwa Eria Lwasi Buzaabo atuuzizza ow’Essiga lwa Namuyenje eribadde limaze emyaka 36 nga teririna alikulembera. Lwomwa ategeezezza nti singa Essiga lyonna teribeera na mukulembeze, kigootaanya obuweereza mu Kika ate n’abazzukulu abava mu Ssiga eryo nebatafuna kulambikibwa. Bino byonna bibadde ku butaka bw’Ekika kino e Mbaale.