Lukwago Akubye Ebituli mu Kiteeso kya Richard Lumu, Agamba Lumu Yakireese Kunafuya Bavuganya
- ByAdmin --
- Sep 03, 2024 --
Bannakibiina ki Forum for Democratic Change ki FDC, ekiwayi kye Katonga bawakanyizza ebbago ly’Etteeka erireetebwa mu Palamenti okukyusa ennonda y’Akulira oluuyi oluvuganya mu Palamenti nti kyakutta enfuga ya Demokulaasiya ssaako okutabula enkola ya Palamenti. Bano okwogera bino kiddiridde omubaka wa Mityana South Richard Lumu okusaba Palamenti ereete ekiteeso ekirimu ennongoosereza mu ngeri gyebalondamu akulira oludda oluvuganya mu Palamenti