Kyagulanyi Atadde Akazito ku Bitongole Ebikuuma Ddembe Ayagala, Bikukomye Okukwata Abawagizi be
- ByAdmin --
- Aug 06, 2024 --
Abakulira ekibiina ki National Unity Platform bavumiridde ebikolwa by’okuwamba n’okukwata abawagizi babwe mu bumenyi bw’amateeka n’oluvannyuma nebaggulwako emisango egy'ekimpatiira. Kyagulanyi okwogera bino abadde ne bakulembeze banne mu lukungaana lwa bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina ekisangibwa e Makerere - Kavule.