Kyagulanyi Atabukidde Poliisi ku Kubalemesa Enkung'aana, Poliisi Ebasibidde Wabweru
- ByAdmin --
- May 24, 2024 --
National Unity Platform eyimirizaamu enteekateeka yaayo ey’okutalaaga ebitundu bya Bugweri olwaleero olw’okuba babadde balina okutwalira poliisi ebbaluwa eraga okwemulugunya kwabwe ku ngeri poliisi n’ebitongole ebikuumaddembe gyebyabayisizzaamu mu Busoga. Pulezidenti w’ekibiina kino ne Ssaabawandiisi w’ekibiina David Lewis Rubongoya bongedde okukubiriza abantu baabwe okukuuma emirembe yonna gyebayitira era balangiridde okuddamu okutalaaga eggwanga olunaku lw’enkya. Bino babyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire olutudde ku kitebe ky’ekibiina e Kavule.