
Kyagulanyi Alidde Matereke ne Wangadya Oluvanyuma , Kyagulanyi Agobeddwa mu Lukiiko
- ByAdmin --
- May 21, 2024 --
Pulezidenti wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu aggyeyo omusango gw’eyali yawawaabira gavumenti mu kakiiko akalezi k’eddembe ly’obuntu ka Uganda Human Rights Commission nga yeemulugunya olwa gavumenti okuyitiranga mu bitongole ebikuuma ddembe okumugaana okuddamu okuyimba mu kivvulu kyonna kyokka nga mwaggya ensimbi ezimubeezaawo. Kyagulanyi okuggyayo omusango kiddiridde Ssentebe w’akakiiko kano omulamuzi Mariam Wangadya okugaana okumuwuliriza nga agamba nti akakiiko kalaga kyekubiira bwekituuka ku nsonga za NUP ekinyiizizza Wangadya n’alagira Kyagulanyi okwamuka akakiiko ke.