Kyagulanyi Agamba Baagala Kumutta Bekwase ADF

Omukulembeze w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu ategeezezza nga bwagudde mu lukwe lw’okutta abavuganya gavumenti bekwase akabinja k’abakambwe ba ADF abagambibwa okubeera emabega w’obutujju obuzze bubeera mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo. Kyagulanyi waviiriddeyo nga n’omubaka w’ekibuga Mityana Francis Zaake Butebi yakavaayo naategeeza nga bwagudde mu lukwe lw’okumutemula nga bayita mukumukuba amasasi wadde nga teyali mulambulukufu bulungi ku bantu abali emabega w’okumutemula.


LEAVE A COMMENT