Kyabazinga Akunze Abasoga Okukwettanira Okubala Abantu, Kutandika Lwakutaano Luno
- ByAdmin --
- May 07, 2024 --
Kyabazinga wa Busoga William Wilberforce Gabula Nadiope IV asabye abantu be Busoga okwettanira enteekateeka y’okubala abantu egenda okubeerawo nga enaku z’omwezi kkumi okwetoloola eggwanga. Kyabazinga abadde asisikanye ab’ekitongole ekikola ogw’okubala abantu ki UBOS abamukyaliddeko wali mu Lubiri lwe e Igenge mu kibuga Jinja.