
Kkooti Ya Kisekwa Yejjeerezza Olukiiko lw’Ekika ky’Emmamba, Waliwo Abaali Baaluwaabira
- ByAdmin --
- Jun 25, 2025 --
Kkooti ya Kisekwa yejjeerezza olukiiko lw’Ekika ky’Emmamba Gabunga Namakaka mu musango ogwawawaabirwa abamu ku b’Ekika kino abaali beemulugunya ku bukulembezze bw’Ekika kino obw’okuntikko obwa Gabunga Mubiru Zziikwa nga beemulugunya nti yateekebwako mu bukyamu. Bano beekubira enduulu eri Kkooti eno okubaako nekyekola okuyimiriza obukulembeze buno okutuusa ng’ensonga zino zigonjoddwa. Wabula olwaleero Kkooti etegeezeezza nti Gabunga Mubiru Zziikwa aliko yateekebwako wakati mu kugoberera emitendera emituufu egy’Ennono n’Obuwangwa ebya Buganda.