Kkooti Eyimirizza Abasaatuukira ku Ttaka ly’Obwakabaka e Ssingo, Babadde Baasalamu Poloti Okuzitunda
- ByAdmin --
- Nov 05, 2024 --
Obwakabaka busanyukidde ekiragiro kya Kkooti enkulu e Kiboga mweyimiririzza mbagirawo bannakigwanyizi ababadde beesomye okutwala ettaka ly’Obwakabaka kwebwazimba eddwaliro omuzaalira abakyala e Kiboga mu Ssaza lye Ssingo. Kkooti okuyisa ekiragiro kino kiddiridde Obwakabaka okuddukira mu Kkooti okwekubira enduulu ku Bannakigwanyizi abeesomye okulitwala.