
Kkooti Etadde Omukuumi wa Bobiwine , Takkirizibwa Kufuluma Kampala na Wakiso
- ByAdmin --
- Oct 22, 2024 --
Omukuumi wa Pulezidenti wa NUP, Achileo Kivumbi Kkooti y’Amagye amuyimbudde ku kakalu ka kkooti ka bukadde bwa ssente bubiri eza buliwo ate abamweyimiridde nebasabibwa obukadde 10 buli omu nga ssizabuliwo. Ate munnakibiina ki NUP, Agaba Anthony amanyiddwa nga Bobi Young azziddwayo ku alimanda okutuusa ng’ennaku z’omwezi 30 lwanakomezebwawo mu kkooti okuwulira okusaba gwe okw’okweyimirirwa. Bo abasibe bannakibiina ki NUP abaakkiriza emisango egivanaanibwa, baakuleetebwa mu kkooti ku Lwokusatu lwa sabbiiti eno ng’ennaku z’omwezi 23.